Leviticus 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ko amayiba abiri oba obuyiibwa obuto bubiri, bw'aliba asobodde okufuna, akamu ka kitambiro olw'ekibi ate akalala ka kitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ng’okufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olw’ekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bukaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okubifuna; ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era anaaleetanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri. Ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.