Leviticus 14:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona addiranga akaliga ak'ekitambiro olw'omusango ne logi y'omuzigo wamu n'abiwuuba mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaddiranga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’abiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona anaddiranga omwana gw'endiga oguweebwayo olw'ekibi, n'omuzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'abiwaayo eri Mukama ng'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa, ekitwalibwa kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa: