Leviticus 14:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'atta akaliga ak'ekitambiro olw'omusango, n'addira ku musaayi gwako n'agusiiga ku kasammambiro k'okutu okwa ddyo okw'oli atukuzibwa ne ku kyalakisajja owa ddyo we, n'ekigere ekisajja ekya ddyo we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anattanga omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo olw’omusango; n’addira ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango, n’agusiiga ku lukugiro lw’okutu okwa ddyo okw’oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu eky’engalo ey’omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’oku kugulu kwe okwa ddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anattanga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja, ebyoyo agenda okulongoosebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anattanga omwana gw'endiga ogwo, n'atoola ku musaayi gwagwo n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono ogwa ddyo ne ku kigere ekisajja ekya ddyo eby'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo: