Leviticus 14:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akamu ng'ekitambiro olw'ekibi, ate akalala ng'ekitambiro ekyokye, awamu n'ekitone eky'obuwunga. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga mu maaso g'Omukama ku lw'oyo atukuzibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekinyonyi ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’agattirako n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ejjiba erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala ne liba ekiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo otw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabana anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama.