Leviticus 14:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe muyingiranga mu nsi y'e Kanaani gye ndibawa ng'obutaka bwammwe, ne nkuba n'ekigenge eky'obukuku ennyumba ey'omu nsi eribaweebwa ng'obutaka bwammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mutuukanga mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba zammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe muliba nga mutuuse mu nsi y'e Kanaani, gye mbawa mmwe okuba obutaka bwammwe, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba mu nsi eyo ebaweebwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe muliba nga mutuuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe;