Leviticus 14:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona alagiranga ne bafulumya byonna ebiri mu nnyumba nga tannayingira kukebera bukuku, sikulwa nga byonna abirangirira nti si birongoofu; oluvannyuma ayingiranga, n'akebera ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona nga tannaba kuyingira kulaba nnyumba, anaalagiranga okuggyamu ebintu byonna ebiri mu nnyumba, bireme okufuuka ebitali birongoofu; awo oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona nga tannayingira kukebera ndwadde ya bigenge, anaalagiranga okufulumya buli kintu mu nnyumba eyo, bireme kufuuka ebitali birongoofu. Olwo kabona anaayingiranga ennyumba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba: