Leviticus 14:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bazza amayinja amalala mu kifo kya gali agaggyibwamu, ne baddira omwiko omuggya ennyumba ne bagimaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baddira amayinja amalala, ne bagazza mu kifo kya gali ge baggyeemu, n'ennoni endala ne bagisiiga ku bisenge bye nnyumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddira amayinja amalala ne bagazimba mu kifo kya gali agaggyiddwamu, era ne baddira langi endala ne bagisiiga ku bisenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennoni endala, n'agisiiga ku nnyumba.