Leviticus 14:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Obukuku bwe buddamu okuyiwa mu nnyumba oluvannyuma lw'amayinja okuggyibwamu, ebisenge okukalakatibwa, n'okumaalibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye endwadde bw'eneekomangawo n'esaasaana mu nnyumba emaze okuggyibwamu amayinja n'okukolokotebwako ennoni, era n'okusiigibwako endala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo endwadde bw'eddangamu okufuutuuka mu nnyumba ng'amayinja gamaze okuggyibwamu, nga n'ebisenge bikolokoteddwa ne bisiigibwa langi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo endwadde bw'eneekomangawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako;