Leviticus 14:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagyabyanga, amayinja gaayo, embaawo n'omwiko eby'ennyumba eyo ne bitwalibwa ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaayabyanga ennyumba yonna, amayinja gaayo, emiti, n'ennoni; byonna anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eneeyabizibwanga, amayinja gaayo n'emiti ne langi yaayo yonna binaatwalibwanga ebweru w'ekibuga mu kifo awasuulibwa ebitali birongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.