Leviticus 14:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayingiranga mu nnyumba eyo ng'emaze okuggalibwa taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba eyo bw’eneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera ky’eneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera ky'eneebanga nga nzigale, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli anaayingiranga mu nnyumba eyo ng'ekyaggaliddwawo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.