Leviticus 14:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kabona bw'ayingiranga, obukuku ne buba nga tebubunye mu nnyumba oluvannyuma lw'ennyumba okumaalibwa, olwo alangiriranga nti nnongoofu, kubanga okukukula kugenze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye kabona bw’anajjanga n’akebera mu nnyumba eyo ng’emaze okukubibwako omusenyu, n’asanga ng’obulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ng’ennyumba eyo bw’eri ennongoofu, kubanga olwo ng’obulwadde bugenze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ennyumba bw'eneemalanga okusiigibwako ennoni, kabona n'ayingira n'akebera, n'alaba ng'endwadde tebunye ku nnyumba, kale anaalangiriranga ennyumba eyo nga nnongoofu, olwo ng'endwadde ewonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona bw'anaayingiranga n'alaba ng'endwadde tezzeemu kulabika ng'ennyumba emaze okusiigibwako langi, anaalangiriranga nti ennyumba eyo nnongoofu, kubanga endwadde ewonye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyumba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'ewonye.