Leviticus 14:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'addira akati k'entolookyo ne yissopo n'olugoye olutwakaavu n'ennyonyi ennamu n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi etambiddwa ne mu mazzi ag'oku luzzi, n'amansira ennyumba emirundi musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo anaddiranga akabaawo k’omuti omwerezi n’ezobu, n’ekiwero ekimyufu, n’ekinyonyi ekikyali ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, n’alyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu, n'ennyonyi ennamu, byonna n'abinnyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaddiranga omuti omwerezi, n'akati akayitibwa yisopu, n'ekinyonyi ekiramu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa, ne mu mazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta. Anaamansiranga ennyumba emirundi musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ennamu, n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu: