Leviticus 14:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ennyonyi ennamu agiteeranga ku ttale ebweru w'ekibuga; bw'atyo anaddaabirizanga ku lw'ennyumba, olwo eneebanga nnongoofu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’afulumya ekinyonyi ekiramu ebweru w’ekibuga n’akiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale, okuva mu kibuga; bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba n'eba ennongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaatanga ekinyonyi ekiramu ne kibuuka mu bbanga okuva mu kibuga, ne kigenda mu ttale. Bw'atyo bw'anaatukuzanga ennyumba n'eba nnongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu.