Leviticus 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Addiranga ennyonyi endala ennamu, wamu n'akati k'entolookyo, n'olugoye olutwakaavu ko yissopo n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi eyattiddwa ku mazzi ag'oku luzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu n’omuti omwerezi, n’oluwuzi olumyufu, n’ezobu, byonna ebyo n’abinnyika mu musaayi gw’ennyonyi enettirwanga waggulu w’amazzi amalungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaddiranga ennyonyi ennamu, omuti omwerezi, olugoye olumyufu ne ezobu, byonna n'abinyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaddiranga ekinyonyi ekiramu, awamu n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'akati akayitibwa yisopu, n'abinnyika mu musaayi gw'ekinyonyi ekittiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta: