Leviticus 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'okutukuza ayozanga engoye ze, n'amwa obwoya bwonna ku mubiri n'anaaba n'amazzi; awo anaabanga alongoose. Olwo aliyingira mu lusiisira, naye asigalanga bweru wa weema ye okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, n’amwako enviiri ze, n’anaaba mu mazzi, n’abeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ng’asula bweru wa weema ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu; oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu oyo agenda okutukuzibwa anaayozanga ebyambalo bye, n'amwako enviiri ze zonna, n'anaaba, olwo n'abalibwa nga mulongoofu, n'alyoka ayingira mu lusiisira. Kyokka anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.