Leviticus 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomusanvu amwanga enviiri ze, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya ku mubiri gwe gwonna. Engoye ze azoozanga n'anaaba n'omubiri, olwo anaabanga alongoose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'omusanvu, nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ebirevu n'ebisige, era anaayozanga engoye ze n'anaaba omubiri, n'alyoka abeera omulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya bwonna ku mubiri gwe. Era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'abalibwa nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu.