Leviticus 15:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli yenna akwatanga ku kintu kw'aba atudde, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Abanga akutte ku ebyo by'abadde atuddeko, ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli anaakomanga ku kintu omuziku ky'abadde atuddeko anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akwata ku kintu ow'enziku ky'abadde atuddeko, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.