Leviticus 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekintu eky'ebbumba ky'abanga akutteko, kyasibwanga bwasibwa. Bwe kiba eky'omuti, kyozebwanga n'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekintu eky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga; na buli kintu ky'omuti ky'anaakomangako kinaayozebwanga mu mazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekintu eky'ebbumba ow'enziku ky'anaakwatangako, kinaayasibwanga. Na buli kintu kya muti ky'anaakwatangako, kinaayozebwanga mu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi.