Leviticus 15:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ow'obulwadde obwo bw'awonanga ekikulukuto ky'amazzi, abalanga ennaku musanvu okutuusa ku kutukuzibwa kwe; awo ayozanga engoye ze n'anaaba omubiri gwonna mu mazzi ag'oku luzzi, olwo anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuziku yenna bw'anaawonanga, aneebaliranga ennaku musanvu okwetukuza; anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta n'alyoka aba omulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ow'enziku bw'anaawonanga enziku ye, anaalindangako ennaku musanvu okwetukuza, n'alyoka ayoza ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.