Leviticus 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomunaana aleetanga amayiba abiri oba obuyiibwa obuto bubiri, n'ajja mu maaso g'Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano, n'abikwasa kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, n'ajja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'agawa kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona: