Leviticus 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja bw'afulumyanga amazzi ag'ekisajja, anaabanga amazzi omubiri gwonna; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.