Leviticus 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyambalo oba eddiba okuli amazzi ago byozebwanga; biriba si birongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli kyambalo oba ddiba erinatonyebwangako amazzi ago kinaayozebwanga ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu kya lugoye oba kya ddiba amazzi ag'obusajja kwe gatonnye, kinaayozebwanga, ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi.