Leviticus 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja bw'abanga yeebase n'omukazi n'afulumya amazzi ag'ekisajja, bombi banaanaabanga n'amazzi, era tebaabenga balongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omusajja n'omukazi bwe banaamalanga okwegatta bananaabanga n'amazzi ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omusajja n'omukazi nga bamaze okwebaka bombi, banaanaabanga mu mazzi, ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.