Leviticus 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugambe Abayisirayeli nti: “ ‘Omusajja bw'abanga alina ekikulukuto ky'amazzi mu mubiri gwe, ekikulukuto kye si kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mugambe abaana ba Isiraeri nti omusajja yenna bw'anaabanga n'enziku, nga si mulongoofu olw'enziku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwogere n'Abayisirayeli mubategeeze nti buli musajja alwadde enziku, taabenga mulongoofu olw'enziku ye gy'alwadde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugambe abaana ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye.