Leviticus 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Na buli kyonna kw'agalamidde oba kw'atudde mu biseera bye eby'omwezi tekibenga kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli kintu ky'anaasulangako ne ky'anaatuulangako mu biro by'okweyawula kwe, binaabanga ebitali birongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu ky'aneebakangako, oba ky'anaatuulangako mu nnaku z'ebiseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, tekiibenga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.