Leviticus 15:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Akwatanga ku kitanda kye, ayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli anaakoonanga ku kitanda ky'omukazi oyo, oba ku kintu kyonna ky'abadde atuddeko, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.