Leviticus 15:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na buli anaabanga akutte ku kintu omukazi oyo ky'aliba atuddeko oba ekiri ku kitanda kye, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu kyonna ekirala ky'atuddeko, oyo akikomyeko anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.