Leviticus 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja bwe yeebakanga naye ng'ali mu biseera bye eby'omwezi omusaayi gumala gumutuukako, omusajja oyo anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu, n'ekitanda kyonna mw'alyebaka tekibenga kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja yenna bw'aneegattanga naye anaabeeranga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako nakyo kinaabeeranga ekitali kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja aneebakanga naye mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, era buli kitanda kye yeebakako, tekiibenga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.