Leviticus 15:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitanda kwe yeebaka mu bbanga lino tekibenga kirongoofu nga bwe guba mu biseera bye eby'omwezi, na buli kyonna ky'atuulako tekibenga kirongoofu nga bwe guba mu biseera bye eby'omwezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kitanda ky'anaasulangako oba buli ky'anaatuulangako mu nnaku ezo binaabanga ebitali birongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kitanda kye yeebakako, ne buli kintu ky'atuulako mu kiseera ekyo, tekiibenga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe.