Leviticus 15:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na buli alibanga amukutteko taabenga mulongoofu; ayozanga ebyambalo bye, naye yennyini n'anaaba amazzi, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli anaakomanga ku ebyo, anaabanga atali mulongoofu, anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne buli anaabikoonangako, taabenga mulongoofu, era anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.