Leviticus 15:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bw'amalanga okutukuzibwako ekikulukuto kye, abalanga ennaku musanvu, oluvannyuma anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi bw'anavaanga mu biro eby'okweyawula kwe okw'embeera y'abakazi, aneebaliranga ennaku musanvu n'alyoka aba omulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi oyo bw'anaakomanga okuvaamu omusaayi, anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka aba omulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu.