Leviticus 15:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomunaana aleetanga amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri obuto n'abukwasa kabona ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omunaana, anaatwalanga enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.