Leviticus 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekikulukuto ky'amazzi bwe kiti bwe kinaaleetanga obutaba mulongoofu: “ ‘Ekikulukuto ky'amazzi kibeere nti kisalikako, oba nti kigira ne kizibikira, mu ngeri zombi ono si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutali bulongoofu bwe bunaabanga ng'atonnya oba ng'azibikidde olw'enziku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba ng'emuleetera okutonnya, omusulo oba okuzibikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe.