Leviticus 15:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona akamu akaweerezanga ng'ekitambiro olw'ekibi, akalala ng'ekitambiro ekyokye. Bw'atyo kabona bw'aliddaabirizanga ku lulwe mu maaso g'Omukama olw'obutaba mulongoofu obwava ku kikulukuto kye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaawangayo, erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'obutali bulongoofu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaagawangayo: erimu nga lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala nga lya kiweebwayo ekyokebwa. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama, olw'okuvaamu omusaayi ogwamufuula atali mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe.