Leviticus 15:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwawulanga nno Abayisirayeli ku bibafuula abatali balongoofu, sikulwa nga bafa olw'obutaba balongoofu ne bajaajaamya ekisulo kyange ekiri mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri wakati mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe mutyo bwe munaalabulanga abaana ba Isiraeri ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu n'okwonoonyesa Eweema yange eri wakati mu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mutyo bwe munaalabulanga Abayisirayeli ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu olw'okujaajaamya Eweema yange eri wakati mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo.