Leviticus 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omuntu akwatanga ku kitanda kye, ayozanga engoye ze, n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli anaakoonanga ku kitanda ky'ow'enziku, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.