Leviticus 15:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omuntu alina ekikulukuto ky'amazzi bw'awandiranga omuntu omulongoofu amalusu, gwe bawandidde ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; awandiddwako amalusu anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ow'enziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu, omulongoofu anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.