Leviticus 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yayogera ne Musa nga batabani ba Aroni ababiri bamaze okufa, lwe baasembera mu maaso g'Omukama ne battibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera ne Musa, nga babiri ku batabani ba Alooni bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayogera ne Musa, nga Arooni amaze okufiirwa batabani be bombi, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa;