Leviticus 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Gamba Aroni muganda wo nti tamalanga gayingira akadde konna mu Watukuvu Ennyo emabega w'olutimbe mu maaso g'Entebe y'Obusaasizi, ebikka ku Ssanduuku, sikulwa ng'afa, kubanga ndabikira mu kire ku Ntebe ey'Obusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Gamba Alooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde mu watukuvu, munda w'eggigi, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku ssanduuko aleme kufa; kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Gamba Arooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde munda w'olutimbe mu Kifo Ekitukuvu, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi eri ku ssanduuko, aleme kufa, kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe eyo ey'obusaasizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.