Leviticus 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni agissangako emikono gye gyombi, n'ayatulirako ebyonoono byonna eby'Abayisirayeli, emisango gyabwe gyonna n'ebibi byabwe byonna, n'abissa ku mutwe gwayo, n'agisindika mu ddungu ng'agikwasa omuntu ategekeddwa okugitwalayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agikwasa omuntu ateekeddwateekeddwa, n'agisindiikiriza mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi eyo ennamu, n'agyatulirako ebyonoono n'ebibi by'Abayisirayeli, n'obujeemu bwabwe bwonna, n'abizza ku mutwe gwayo, n'agisindiikiriza mu ddungu ng'etwalibwa omuntu eyategekeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese: