Leviticus 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwo Aroni ayingiranga mu Weema ey'Ensisinkano n'aggyamu ebyambalo by'abaddemu ng'ayingira mu Watukuvu Ennyo, n'abireka eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo Alooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambulamu ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo Arooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayambulamu ebyambalo ebyeru bye yayambadde okuyingira mu Kifo Ekitukuvu, n'abireka omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo: