Leviticus 16:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lino lye tteeka lyammwe ery'olubeerera: “Mu mwezi ogwomusanvu nga gwakamala ennaku kkumi, musiibanga, temukolanga mulimu na gumu, abeere muzaaliranwa oba omugwira asula mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era lino linaabanga etteeka gye muli emirembe gyonna. Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'omusanvu, muneebonerezanga, so temukolanga mulimu gwonna; enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo, baneebonerezanga, era tebaakolenga mulimu na gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: