Leviticus 16:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olunaku olwo wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe okubatukuza; mu maaso g'Omukama muliba balongoofu abataliiko kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga ebibi byammwe byonna okuba abalongoofu mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe olw'okubatukuza, muggyibweko ebibi byammwe byonna, mube balongoofu mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama.