Leviticus 16:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lino tteeka lyammwe ery'olubeerera: Okuddaabiriza ku lw'ebibi by'Abayisirayeli kwa kukolebwanga omulundi gumu mu mwaka.” Ne bakola nga Katonda bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.” Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka.” Musa n'akola byonna, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, wabeerengawo okuddaabiriza ku lw'Abayisirayeli omulundi gumu buli mwaka, olw'ebibi byabwe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.