Leviticus 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli wa mu nnyumba ya Yisirayeli oba omugwira asula mu bo, bw'alyanga omusaayi, ndimwefuulira, era ndimukutula okuva mu bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku munnaggwanga atuula mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange ku ye, era ne muboola okuva mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli bw'anaalyanga ku musaayi, nnaamutunuulizanga bukambwe, era nnaabanga sikyamubalira mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; nnaateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.