Leviticus 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi; nze nagubawa musobole okuddaabiriza ku lwammwe ku mwaliiro; omusaayi gwe muwaayo ng'omutango ku lw'obulamu bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri buba mu musaayi, era ngubawadde okutangiriranga obulamu bwammwe ku kyoto; kubanga omusaayi gwe gutangirira obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ngubawa mmwe guddaabirizenga ku lw'obulamu ku alutaari, kubanga omusaayi gwe guddaabiriza ku lw'obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.