Leviticus 17:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: “Mu mmwe temubangamu n'omu alya omusaayi, newandibadde omugwira ali mu mmwe; tolyanga omusaayi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti, Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, newakubadde mu nnaggwanga anaatuulanga mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Tewaabenga n'omu ku mmwe alya omusaayi, era n'omugwira abeera mu mmwe, taalyenga musaayi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi: