Leviticus 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli Muyisirayeli oba omugwira asula mu bo, ng'ayigga, bw'akwasanga ensolo oba ennyonyi eriibwa, alekanga omusaayi gwayo gwonna ne gutiiriika, n'agubikkako ettaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuisiraeri yenna, oba munnaggwanga abeera mu Baisiraeri, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako enfuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako ettaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.