Leviticus 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: “Temulyanga musaayi gwa kintu kyonna, kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi. Buli yenna anaabanga agulidde wa kukutulwangako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi gwakyo; kye nnava ŋŋamba aba Isiraeri nti, Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna, kubanga obulamu bw'ekirina omubiri kyonna buli mu musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Temuulyenga ku musaayi gwa kintu na kimu ekirina omubiri, kubanga obulamu bwakyo gwe musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako, anaazikirizibwanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.