Leviticus 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli yenna alibanga alidde ennyama eya kalannamye oba etaaguddwa ebisolo eby'ettale, abeere muzaaliranwa oba omugwira, ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi: taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli muntu, oba nzaalwa oba munnaggwanga anaalyanga ku nsolo efa yokka oba etaaguddwa ensolo, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi, n'alyoka aba mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli muntu, oba nzaalwa, oba mugwira, mu Bayisirayeli, anaalyanga ensolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu.